Nga tonnaba kukozesa kaweke

Wetagisa okufuna amawulire agamala era wetegeke bulungi nga tonakozesa buweke obujjamu olubuto.

Embalirizi y’olubuto

Otuuse bbanga ki mu lubuto lwo? Okunonyereza kulaga nti eddagala erijjamu olubuto mu ngeri ey’obujjaanjabi likubirizibwa nnyo okukozesebwa nga ssabbiiti 10 tezinnaba kutuuka okuva ku lunaku lwewasemba okugenda mu nsonga. Koseza embalirizi y’olubuto okusobola okumanya ebbanga ki lyolina, okuva ku lunaku lwewasemba okugenda mu nsonga.

Ensonga zo ezasembayo wezibeera zatandika ku oba:

Osobola okukozesa empeke y'okujjamu olubuto

Eby’okwetegeereza

Bwoba olina akaweeta akaziyiza okufuna olubuto

Bwoba nga olina ka kkoyiro mu nnabaana (e.g. the coil IUD or the progesterone IUD) olina okugenda bakajjemu. Ka kkoyiro (IUD) kalian okujjibwaamu nga tonnaba kutandika kumira buweke bujjamu lubuto.

Bwoba nga olina akawuka akaleta mukenennya

Bwoba nga owangaala n’akawuka ka mukenenya (HIV), fuba bufubi nnyo nti teweyingera kulwaala, omira empeke za ARV, ate nga obulamu bwo bulungi.

Bwoba nga wekengedde okusasanya ebikukwata ko

wobeera nga welarikilidde ku ky'okukuuma eky'okujjamu olubuto nga kyekusifu nga wekisoboka, akakerenda k'okujjamu olubuto kateeke wansi w'olulimi mu kifo ky'okasonseka mu kitundu kyo ekyekyaama. Mu mbeera embi eteetegekeddwa nga ofunye obukosefu era nga olina okufuna obuyambi bw’obusawo, empeke ziyinza okusigala nga zilabibwa mu mumwa gwa nnabaana. Mu nsi ezimu, oyinza okulopebwa bwoba nga osangiddwa nga olina empeke mu mumwa gwa nnabaaba yo.

Bwoba nga oyonsa omwana

Bwoba nga oyoonsa omwaana ebeere, empeke za misoprostol ziyinza okuleeta ekiddukanyo eri omwaana omuwere. Okwewala kino, yoonsa omwaana, mira empeke za misoprostol, linda mu essaawa 4 nga tonnaba kuddamu kuyoonsa.

Bwoba nga tolina musaayi gumala

Bwoba nga olina obukeneevu bw’omusaayi (nga olina omuwendo gw’ecuuma nga kitono mu musaayi gwo), nnoonya omujjaanjabi akuli okumpi nga tekisukka ddakiika 30 okumutuukako ayinza okuyamba bwoba nga wetaaze obuyambi. Bwoba nga omusaayi gwo mutono nnyo ddala, sooka webuuze ku ddokita nga tonnaba kukozesa buweke bujjamu mbuto.

Okubulirira okubuna

Lya katono (e.g. omugaati oba obunkyancinkyanci buyinz aokuyamba awali ekikeeto)

Okubeera n’omuntu ayinza okukubudabuda oba okukulabirira nakyo kiyamba nnyo.

Nywa amazzi mangi mu mitendera gyonna

Oyinza okumira ibuprofen nga tonnaba kukozesa misoprostol okusobola okukendeeza ku bulumi obuva mu lubuto

Bwokozesa obuweke bwa misoprostol, beera mu kifo (nga ewaka wo) nga olina obusobozi okufuan obukweefu ate nga osobola okugalamira wansi okumala essaawa ezimu nga omaze okukozesa empeke bwoba nga oyagadde.

Luka olutegeka olw’obukuumi nga tonnaba kukozesa mpeke zijjamu lubuto bwoba nga wetaagisa okufuna obuyambi bw’obusawo obw’amangu. (Okuyunga ku kitundu)

Okuluka olutegeka olw’obukuumi

Nga tunokola okuva ku kitongole ekiyitibwa American Congress of Obstetricians and Gynecologists, okujjamu olubuto okw’obujjaanjabi okukolebwa ku ssabbiiti ezisooka z’ezimu ku ngeri ez’obusawo ezisinga obutabeeramu bukosefu. Naye, olina okubeera omwetegefu buli kaseera okufuna obuyambi bw’obusawo obw’amangu. Tunula mu bibuuzo byaffe bino wansi okusobola okuluka olutegeka lwo olw’obukuumi bwoba nga olwetaaze.

Wa awali eddwaliro erisinga okubeera okumpi nawe nga liko essaawa 24 era nga riwa obujjaanja obw’amangu obw’obusawo?

Olina okuba nga osobola okutuukayo mu ssaawa 1 oba amangu ko. (Bwoba nga olina obukendeevu bw’omusaayi, olinaokutuukayo mu ddakiika 30.)

Onatuukayo otya ku ddwaaliro lyo ery’obujjaanjabi obw’amangu?

Onabeera n’omuntu yenna asobola okuvuga emmotoka? Onatambula ne ttakisi? Okutambula kwa bonna? Kinaakumalira ssente mmeka ate kinabeerawo mu ssaawa 24? Jjukira, sikirungi kwevuga gwekennyini ng’ogenda ku ddwaaliro mu mbeera eyaagisa obujjaanja bw’amangu obw’obusawo.

Ba ddokita onabagamba ki?
  • ki? Okujjamu olubuto okw’obujjaanjabi oba ewaka kugaanibwa mu mateeka wowangaalira? Kiki kyoyinza okugamba ba ddokita bo basobole okutegeera obuyambi bwewetaagisa, naye nga kikuuma obwekusifu bwo? Tulina ebiteeso ebimu bwoba nga wetaaga obuyambi nga olowooza ku kiki eky’okwogera.
  • Kiki eky’obulira ba ddokita bo Mu nsi ezimu, okujjamu olubuto mu ngeri ey’obujjaanjabi oba ewaka bigaanibwa ddaala mu mateeka. Kino kitegeeza nti bwoba nga wetaaga obuyambi bw’obusawo obw’amabu, olina okubeera omwegendereza ennyo ku kiki kyoyatula. Okujjamu olubuto mu ngeri y’obujjaanjabi kirina obubonero bwebumu nga olubuto oluvaamu lwokka (oluyitibwa spontaneous abortion). N’olw’ekyo, oyinza okugamba ebintu nga:

Ebyawandikibwako:

Ekibanja kumutimbagano kino kiyinza okwagala obulondoola abakozesa n'empereeza endala y'abakwasaganya okukola obulungi. Osobola okusoma Enkola n'Obukwakulizo bwaffe n' Emitendera gy'Okukuuma Ebyama . Okusigala ng'okozesa ekibanja kino, oba otuwa okukkiriza kwo okukola kino.